Omujjuulirizo gw'omukutule (the complement of a fraction)Omukutule era oyinza okukiyita "emu enkutule" oba "emwenkutule" kubanga mu butuufu omukutule guba muwendo omulamba omukutulemu ebitundu. Singa oddira emu n'ogikutulamu ebitundutundu , buli kitundu kiyitibwa " mukutule", ekitegeeza "omuwendo omukutulemu". Muwanga anokoolayo emikutule egy'enjawulo mu Luganda bwati: (a)Omukutule ogwa nigeemu(unit fraction) (b) Omukutule omutuukirivu(Proper fraction).Guno guba ne kinnawansi nga nnene okusinga kinnawaggulu.Ekyok. 1/2. (c) Omukutule ogutali mutuukirivu( improper fraction). Guno guba ne kinnawansi nga kitono okusinga kinnawaggulu.Ekyok. 2/1 (d) Omukutule omugattike (Mixed fraction) (e) Omujjuulirizo gw'omukutule(the complement of a fraction). Ekyok. 2/3 gwe mujjuulirizo gwa 3/5 (f)Omukutule ogwa bulijjo(Common fraction) gubaako kinnawansi(denominator) ne kinnawaggulu (numerator).Ekyok. 2/10. Omukutule ogw'omutonnyeze nga 0.2 tegubalibwa nga mukutule gwa bulijjo. (g)Omukutule ogw'omutonnyeze(Decimal fraction). Ekyok. 0.2 mukutule ogw'omutonnyeze. Guno si mukutule ogwa bulijjo(not a Common fraction) Information related to Omujjuulirizo gw'omukutule (the complement of a fraction) |
Portal di Ensiklopedia Dunia