Ebinnyonnyozo by'Entoloovu(the properties of a Circle)
Circle Properties
IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post this article from his Luganda scientific works on Luganda Wikipedia for free public consumption.
Ebinnyonnyozo by’Entoloovu (the properties of a Circle)
Entoloovu luba lukoloboze(line) olukola “omwetoloozo” omwetoloovu(circular ring). Bwe guba mwetoloozo(ring) kiba kitegeeza nti guyinza okuzingululwa n’ofuna olukoloboze oluzingulukufu (olugolokofu).
Entoloovu kiva mu kugattika(blending) bigambo by’Oluganda , “enkula ennetoloovu”(Circular shape).
"Circle" eky’Olungereza kiva mu kya Lulattini “circus” ekitegeeza “omwetoloozo”(ring) ogubeera ku kifo we baalabiranga katemba(arena).
Waliwo enjawulo wakati w’ettoloovu(Circle) n’ekyetoloovu (Disk). Entoloovu era ekiyitibwa “olutoloovu”=olukoloboze olwetoloovu, luba lukoloboze olwetoloovu .
Ekyetoloovu=ekintu ekyetoloovu, kiba kintu nga kino kitundu kya kyekitendero (plane) ekisaliddwa mu nkula ey’olukoloboze olwetoloovu.
Kino kitegeeza nti singa okuba entoloovu(circle) ku lubaawo , n’ogisalamu, ekitundu ky’osalamu ekyetoloovu kiyitiba “ekyetoloovu”(disk).
Ebinnyonnyozo by’Entoloovu
(the Properties of a circle)
Entoloovu=enkula ennetoloovu, ennyonnyolwa bino wansi:
(i) Amakkati(Center). Kano kaba katonnyeze mu makkati g’olutoloovu=olukoloboze olwetoloovu. Buli katonnyeze ku lutoloovu le’entoloovu kaba obuwanvu bwe bumu okuva mu makkati g’entoloovu.
(ii)Olunakkati(Radius)) . Olunakkati kiva mu bigambo by’Oluganda “olukoloboze olusala mu “lusekkati” ebitundu bibiri”. Mu luganda amannya agatandika ne “n” galaga “kitundu” ate agatandika ne “s” galaga “kiramba”. Yadde nga omusajja yenkanankana n’omukyala ng’abantu, omukyala yatwalibwanga okuba ekitundu ky’omusajja. Mu ngeri ye’emu olunakkati=olukoloboze olw’amakkati g’olusekkati, lutwalibwa okuba ekitundu ky’olusekkati(Diamater).
(vii) Olikwata oba Olutuuliro(Tangent). Luno luba lukoloboze oluyita wabweru ku ntoloovu ne lujikoonako ku katonnyeze kamu kokka.
(viii) Olusalaganya (Secant). Luno luba lukoloboze olusala mu ntoloovu ku butonnyeze buburi bwokka.
(ix) Buli lw’ogabiza Olusekkati(Diameter) mu obwetoloovu(circumference) bw’entoloovu yonna oba ofuna entakyuka(constant). Entakyuka eno eyitibwa “Paayi”(Pi) era ekunuukiriza 3.142
(xi) Oyinza okusonjola entoloovu nga enkula etondekebwawo nga ekitendero(plane) kisaze mu nsoggo=enkula ey’olusoggo(cone) ku mpeto ennesimbu (at right angles) ku ekisiisi y’ensoggo(at the cone’s axis).
(xii) Entoloovu era eyinza okusonjolwa nga obuufu(Locus). Enkula ennetoloovu(entoloovu) bwe buufu (obuyitiro) bw’obutonnyeze bwonna obuli obuwanvu obumu okuva mu makkati.
Information related to Ebinnyonnyozo by'Entoloovu(the properties of a Circle)